Mu Sayuuni ne mu maka gaffe, okutegeera ensonga lwaki omuntu yeeyisa mu ngeri emu kiyinza okumuleetera okusaasira, naye nga tetumanyi nsonga lwaki, tuyinza okubategeera mu bukyamu, okusunguwala, era oluvannyuma ne tufuuka abalabe.
Eno y 'ensonga lwaki Katonda yalaga obukulu bw'okutegeeragana n'okutunuuliragana era n'akiraga nti "mwagalanenga" ng'enjigiriza ey'omugaso ey'endagaano empya.
Ba memba b'Ekkanisa ya Katonda bafumiitiriza ku kubonaabona, obulumi, ensonyi, n'okuvumibwa Kitaffe ne Nnyaffe kwe baagumira ku lwabwe, nga bawaayo obulamu bwabwe obw 'edda abaabeerawo ku lwabwe bokka, ne bafuba okufuuka abantu abaggya buli omu atunuulira munne, abeewaayo eri munne, era nga bakola ennyo mu kwagala.
Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw'alina gye tuli. Katonda kwagala; n'oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. . . . Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we. 1 Yokaana 4:16–21
119 Bundang P.O.Box, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of KOREA
Tel 031-738-5999 Fax 031-738-5998
Head Office: 50, Sunae-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
Main Church: 35, Pangyoyeok-ro, Bundang-gu, Seongnam-si, Gyeonggi-do, Rep. of Korea
ⓒ World Mission Society Church of God. All rights reserved. Privacy Policy